Numbers 21

Yaladi Kizikirizibwa

1 aKabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo, n’awulira nga Isirayiri ajjira mu kkubo lya Asalimu, n’alumba Isirayiri n’amulwanyisa n’awambamu abamu ku bo. 2Awo Isirayiri ne yeeyama eri Mukama Katonda obweyamo buno nti, “Bw’onoogabula abantu bano mu mukono gwaffe, ne tubawangula, ebibuga byabwe tulibizikiririza ddala.” 3Mukama Katonda n’awulira okwegayirira kw’Abayisirayiri, Abakanani n’abawaayo eri Abayisirayiri, ne bazikiriza ebibuga byabwe; ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Koluma.

Omusota Ogw’Ekikomo

4 bNe basitula okuva ku lusozi Koola, ne bakwata ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu, balyoke beetooloole ensi ya Edomu. Abantu nga bali ku lugendo olwo ne batandika okuggwaamu obugumiikiriza. 5 cNe beemulugunyiza Musa ne Katonda nga boogera nti, “Lwaki mwatuggya mu Misiri okufiira wano mu malungu? Kubanga temuli mmere; so temuli mazzi; n’obumere buno bwe tufuna tubwetamiddwa.”

6 dAwo Mukama n’asindikira abantu emisota emikambwe egy’obusagwa, ne gibojja abantu, era abaana ba Isirayiri bangi ne bafa. 7 eAbantu ne bajja awali Musa, ne bamugamba nti, “Twayonoona bwe twakwemulugunyiza ne twemulugunyiza ne Mukama Katonda, ne tuboogerako bubi. Tusaba weegayirire Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa n’asabira abantu.

8 f Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Kolayo omusota ogufaanana nga giri emikambwe egy’obusagwa oguwanike ku mulongooti; buli anaabojjebwanga omusota, n’agutunulako, anaawonanga.” 9 gAwo Musa n’aweesa omusota ogw’ekikomo, n’aguwanika ku mulongooti. Kale buli eyabojjebwanga omusota n’atunula ku musota ogw’ekikomo, ng’awona, ng’aba mulamu.

Olugendo Olwabatuusa mu Mowaabu

10 hAwo abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okutuuka mu Yebosi, ne basiisira omwo. 11 iNe basitula okuva mu Yebosi ne batambula, ne basiisira mu Lye-Abalimu, mu ddungu eryolekedde Mowaabu, ku luuyi olw’ebuvanjuba. 12 jBwe baava awo, ne batambula okulaga mu kiwonvu kya Zeredi, ne basiisira omwo. 13 kNe bava awo, ne batambula ne basiisira emitala w’omugga Alunoni, oguli mu ddungu erituuka ne ku nsalo ya Abamoli. Omugga Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, eyawula Mowaabu n’Abamoli. 14Kyekyava kiwandiikibwa mu Kitabo ky’Entalo za Mukama Katonda, nti,

“Vakebu ne Sufa,
n’ebiwonvu bya Alunoni,
15 ln’obuserengeto bw’ebiwonvu
ebituuka ku kibuga kya Ali,
ne byesigama ku nsalo ya Mowaabu.”
16 mBwe baava eyo ne batambula okutuuka e Beeri, olwo lwe luzzi Mukama we yagambira Musa nti, “Abantu bonna bakuŋŋaanye, mbawe amazzi.”

17 nIsirayiri n’alyoka ayimba oluyimba luno, nti,

“Weetale, ggwe Oluzzi!
Muluyimbirire!
18Muyimbe ku luzzi abalangira lwe baasima,
abakungu n’abantu lwe baayiikuula,
abakungu, emiggo gyabwe.”
19Ne bava mu ddungu ne batambula okutuuka e Matana. Bwe baava e Matana ne balaga e Nakalieri, ne bava e Nakalieri ne balaga e Bamosi. 20Bwe baava e Bamosi ne balaga mu kiwonvu ekiri mu matwale ga Mowaabu wansi w’olusozi Pisuga, kw’osinziira okulengera eddungu.

Sikoni Awangulwa

21 oAwo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli ng’amugamba nti,

22 p“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka olunene mwokka okutuusa lwe tuliva mu nsi yo.”

23 qNaye Sikoni n’atakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye. N’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’agenda atabaale Isirayiri mu ddungu. Bwe yatuuka e Yakazi n’alwana ne Isirayiri. 24 rIsirayiri n’amufumita n’obwogi bw’ekitala, n’atwala ensi ye okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yaboki, n’atuukira ddala ku Bamoni, n’akoma awo, kubanga Abamoni baali ba maanyi nnyo ku nsalo yaabwe. 25 sIsirayiri n’awamba ebibuga byonna eby’Abamoli n’abeera omwo, ne Kesuboni n’akiwambiramu n’obubuga bwonna obwali bukyetoolodde. 26 tKesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni Kabaka w’Abamoli kye yali awambye ng’amaze okulwana n’eyali kabaka wa Mowaabu n’amuggyako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni.

27Abayiiya ennyimba kyebaava bayimba nti,

“Mujje e Kesuboni kizimbibwe;
ekibuga kya Sikoni kizzibwewo.

28 u“Omuliro gwafuluma mu Kesuboni,
ennimi z’omuliro ne ziva mu kibuga kya Sikoni.
Gwayokya Ali ekya Mowaabu,
n’abatuula mu nsozi za Alunoni.
29 vZikusanze, gwe Mowaabu!
Muzikirizibbwa, mmwe abantu ba Kemosi!
Batabani be abawaddeyo eri kabaka Sikoni ow’Abamoli
ne bafuuka ng’abanoonyi b’obubudamu
ne bawala be, ng’abawambe.

30 w“Naye tubawangudde
Kesuboni azikiridde okutuukira ddala ku Diboni.
Tubafufuggazza okutuuka ku Nofa,
kwe kutuukira ddala ku Medeba.”

Ogi Awangulwa

31Bw’atyo Isirayiri n’atuula mu nsi y’Abamoli.

32 xMusa bwe yamala okutuma abakessi e Yazeri, abaana ba Isirayiri ne bawamba ebibuga ebyali bikyebunguludde, ne bagobamu Abamoli abaabibeerangamu. 33 yNe bakyuka ne bambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi kabaka w’e Basani n’eggye lye lyonna ne yeesowolayo okubatabaala mu lutalo olwali mu Ederei.

34 z Mukama n’agamba Musa nti, “Tomutya; kubanga mugabudde mu mukono gwo, n’eggye lye lyonna awamu n’ensi ye; omukole nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abamoli eyafugiranga mu Kesuboni.”

35Bwe batyo ne bamutta, ne batabani be, n’eggye lye lyonna, ne batawonyaawo muntu n’omu
Oluvannyuma lw’obuwanguzi obwo, Isirayiri yafuga ebuvanjuba bwa Yoludaani bwonna okuviira ddala mu Mowaabu okutuuka ku nsozi za Basani mu nsi y’e Kerumooni. Abayisirayiri baateranga okuyimba ennyimba n’okujaguza olw’okuwangula Sikoni ne Ogi (Zab 135:10-11; 136:19-20).
. Ensi ye ne bagirya.

Copyright information for LugEEEE